У нас вы можете посмотреть бесплатно Amyuka akulira NUP mu bugwanjuba ayimbuddwa oluvannyuma lw’okumala omwezi mu kkomera или скачать в максимальном доступном качестве, видео которое было загружено на ютуб. Для загрузки выберите вариант из формы ниже:
Если кнопки скачивания не
загрузились
НАЖМИТЕ ЗДЕСЬ или обновите страницу
Если возникают проблемы со скачиванием видео, пожалуйста напишите в поддержку по адресу внизу
страницы.
Спасибо за использование сервиса ClipSaver.ru
Amyuka pulezidenti wa NUP mu bugwanjuba Jacklyn Jolly Tukamushaba akkiriziddwa okweyimirirwa era nayimbulwa oluvannyuma lw’okumala omwezi mulamba mu kkomera. Tukamushaba nga yavuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Rukiga ku kaadi ya NUP yawambibwa nga okulonda kwa nkeera abantu abategeerekeka nti baali bakuuma ddembe nebamutwalira mu motoka eyakazibwako erya Drone. Kyokka ono agamba wadde ayimbuddwa naye tekijjaawo kutyoboola ddembe lye nga munnayuganda. Ono omulamuzi wa kkooti ento Derick Byamugisha amukkiriza okweyimirirwa ku nsimbi akakadde kamu ak’obuliwo ate nga abamweyimiridde obukadde 5 obutabadde bwa buliwo. Ono nga banne abalala avunaanibwa musanga gw’okukuma mu bantu omuliro mu bitundu bye Rukiga, Kabale ne Rukungiri era nga abadde akuumirwa mu kkomera ly’e Ndorwa oluvannyuma lw’okumala akabanga nga tamanyiddwako mayitire. Ono wakukomawo mu kkooti nga ennaku z’omwezi 24 omwezi guno.